1 Samuel 9:20 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Endogoyi ezaakubulako kati ennaku ssatu, tozeeraliikirira, kubanga zizuuse. Ani kati Yisirayeli gw'esinga okwetaaga? Si ye ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ebifa ku ndogoyi zo ezimaze ennaku essatu nga zibuze, tobyeraliikirira, kubanga zaazuuliddwa. Okwegomba kwa Isirayiri yonna kunaaba kw’ani, bwe kutaabe ku ggwe n’ennyumba ya kitaawo yonna?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'endogoyi zo ezaakamala ennaku ssatu okubula, tozeeraliikirira; kubanga zirabise. Era byonna eby'egombebwa mu Isiraeri biriba by'ani? Tebiriba bibyo ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'endogoyi zo, ezimaze ennaku essatu nga zibuze tozeeraliikirira, kubanga zirabise. Naye Abayisirayeli bonna bayaayaanira ani? Si ggwe, n'ab'omu nnyumba ya kitaawo yonna?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'endogoyi zo ezaakamala ennaku ssatu okubula, tozeeraliikirira; kubanga zirabise. Era byonna ebyegombebwa mu Isiraeri biriba by'ani? tebiriba bibyo ggwe n'ennyumba ya kitaawo yonna?