1 Samuel 9:21 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo ye n'ayanukula, n'agamba nti: “Nze siri Mubenyamiini, ekika kyange si kye kisingirayo ddala obutono mu Yisirayeli? N'essiga lyange si lye lisemberayo ddala mu masiga gonna mu kika kya Benyamiini? Lwaki oŋŋambye ebigambo ebyo?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’addamu nti, “Nze ndi Mubenyamini, era nva mu kika ekisingirayo ddala obutono, ate nga n’ennyumba yaffe y’esingira ddala okuba eya wansi mu nnyumba zonna ez’ekika kya Benyamini. Lwaki oyogera nange ebigambo ebifaanana ng’ebyo?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Sawulo n'addamu n'ayogera nti, “Nze siri Mubenyamini, ow'omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? N'ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez'ekika kya Benyamini? Kale kiki ekikwogeza nange bw'otyo?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'addamu nti: “Ndi wa mu kika kya Benyamiini, ekika ekisingirayo ddala obutono mu Yisirayeli, n'ennyumba yaffe ye esembayo okumanyika mu Kika kya Benyamiini, kale kiki ekikuŋŋambisa bw'otyo?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Sawulo n'addamu n'ayogera nti Nze siri Mubenyamini, ow'omu kika ekisinga obutono mu bika bya Isiraeri? n'ennyumba yange si ye esinga obutono mu nnyumba zonna ez'ekika kya Benyamini? kale kiki ekikwogeza nange bw'otyo?