1 Samuel 9:22 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Samweli n'ayingiza Sawulo n'omuweereza we mu ddiiro, n'abatuuza ku lubu olukulembera endala zonna ez'abaali bayitiddwa; baali bawera ng'amakumi asatu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo Samwiri n’atwala Sawulo n’omuweereza we mu kisenge ekinene, n’abatuuza mu bifo eby’oku mwanjo mu maaso g’abo bonna abaayitibwa abaali bawera ng’amakumi asatu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Samwiri n'atwala Sawulo n'omuddu we n'abayingiza mu nju ey'abagenyi n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo mu abo abaayitibwa, abantu nga asatu (30).
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo Samweli n'atwala Sawulo n'omuweereza we, n'abayingiza mu kisenge ekinene, n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo, awamu n'abagenyi abayite, abaali bakunukkiriza mu makumi asatu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Samwiri n'atwala Sawulo n'omuddu we n'abayingiza mu nju ey'abagenyi n'abatuuza mu kifo eky'oku mwanjo mu abo abaayitibwa, abantu ng'asatu.