1 Samuel 9:24 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omufumbi n'asitula ekisambi n'ebigenderako, n'abissa mu maaso ga Sawulo, Samweli n'amugamba nti: “Kino kye kyakuterekeddwa, kwata olye; kubanga kyaterekeddwa okutuusa ku kadde akalagiddwa, okuva lwe nagambye abantu nti ‘Nnina abagenyi abayite.’ ” Ku olwo Sawulo yalya wamu ne Samweli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo omufumbi n’addira ekisambi, n’ebyakiriko n’akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n’ayogera nti, “Laba kino kye kyakuterekeddwa. Kirye kubanga kyakuterekeddwa okutuusa ekiseera kino olw’omukolo guno, okuva ku kiseera kiri, bwe nagamba nti, ‘Nnina abagenyi abayite.’ ” Awo Sawulo n’aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo omufumbi n'aleeta ekisambi n'ebyakiriko n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Eno ye nnyama gye n'akuterekedde. Girye, kubanga yakuterekeddwa okutuusa ku kiseera ekyatekeddwawo, olyoke ogirye n'abagenyi.” Bw'atyo Sawulo n'aliira wamu ne Samwiri ku lunaku olwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo omufumbi n'aleeta ekisambi n'ebyakiriko, n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samweli n'agamba Sawulo nti: “Eno ye nnyama gye nakuterekedde. Girye, kubanga nagiggyeeko ne ngikuterekera, okuviira ddala mu kaseera ke nagambiddeko nti: ‘Mpise abagenyi.’ ” Bw'atyo Sawulo n'aliira wamu ne Samweli ku lunaku olwo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omufumbiro n'asitula ekisambi n'ebyakiriko n'akiteeka mu maaso ga Sawulo. Samwiri n'ayogera nti Laba ekyo ekiterekeddwa! kiteeke mu maaso go olye; kubanga kikuterekeddwa okutuusa ku biro ebyateekebwawo, kubanga nayogera nti Mpise abantu. Awo Sawulo n'alya ne Samwiri ku lunaku olwo.