1 Samuel 9:27 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe baali baserengeta nga batuuse ekibuga we kiggweerako, Samweli n'agamba Sawulo nti: “Omulenzi mugambe yeeyongereyo mu maaso gaffe.” Omulenzi ne yeeyongerayo mu maaso. Samweli n'agamba Sawulo nti: “Ggwe yimiriramu katono nkubuulire ekigambo kya Katonda.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baali baserengeta nga banaatera okutuuka ekibuga we kikoma, Samwiri n’agamba Sawulo nti, “Gamba omuweereza wo ayitewo, atukulemberemu, gwe osigaleko wano, nkutegeeze obubaka obuva eri Katonda.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'agamba Sawulo nti, “Lagira omuddu ayitemu atukulembere,” n'ayitamu, “naye ggwe yimirira buyimirizi wano nkutegeeze ekigambo kya Katonda.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samweli n'agamba Sawulo nti: “Gamba omuweereza ayitewo, atukulemberemu. Bw'anaamala okuyitawo, ggwe oyimirireko wano katono, nkumanyise ekigambo kya Katonda.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baali nga baserengeta ekibuga we kikoma, Samwiri n'agamba Sawulo nti Lagira omuddu ayitemu atukulembere (n'ayitamu,) naye ggwe yimirira buyimirizi mu kiseera kino nkuwulize ekigambo kya Katonda.