1 Samuel 9:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'ayita mu nsozi za Efurayimu, ne mu nsi y'e Salisa, naye tezaaliyo; n'agenda ne mu bitundu by'e Saalimu, era tezaaliyo; n'asalira mu nsi y'e Yemiini, era tebaazisanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne bayitira mu nsi ey’ensozi eya Efulayimu ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ya Saalimu naye ne bataziraba. Ne bayita ne mu nsi ye Benyamini, naye ne zibabula.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo n'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n'ayita ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba. Awo ne bayita mu nsi ya Saalimu, nga teziri eyo, n'ayita mu nsi ey'Ababenyamini, naye ne bataziraba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
N'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efurayimu, n'ayita ne mu kitundu kya Salisa, naye ne bataziraba. Awo ne bayita mu nsi y'e Saalimu, nga teziriiyo. N'ayita mu nsi ey'Ababenyamiini, naye ne bataziraba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo n'ayita mu nsi ey'ensozi eya Efulayimu n’ayita ne mu nsi ya Salisa, naye ne bataziraba: awo ne bayita mu nsi ya Saalimu, nga teziri eyo: n'ayita mu nsi ey'Ababenyamini, naye ne bataziraba.