1 Samuel 9:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe batuuka mu nsi y'e Zufu, Sawulo n'agamba omulenzi gwe yali naye nti: “Gira tuddeyo, sikulwa nga kitange eby'okweraliikirira endogoyi abivaako, ate ne yeeraliikirira ffe.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n’agamba omuweereza eyali naye nti, “Jjangu tuddeyo, sikuba nga kitange ava ku b’endogoyi, n’atandika okweraliikirira ffe.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n'agamba omuddu we eyali naye nti, “Tuddeyo; kubanga kitange ajja kulekerawo okulowooza ku ndogoyi yeeraliikirire ffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe baatuuka mu kitundu ky'e Zufu, Sawulo n'agamba omuweereza we eyali naye nti: “Tuddeyo eka, sikulwa nga kitange aleka okulowooza ku ndogoyi, n'atandika okweraliikirira ffe.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo bwe baatuuka mu nsi ya Zufu, Sawulo n'agamba omuddu we eyali naye nti Tugende tuddeyo; kitange aleme okuleka okulowooza endogoyi ne yeeraliikirira ffe.