1 Samuel 9:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulenzi n'amugamba nti: “Mu kibuga muno mulimu omuntu wa Katonda, musajja wa kitiibwa, buli ky'ayogera mazima kituukirira; gira tugendeyo oboolyawo anaatutegeeza ekkubo lye twandikutte.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye omuweereza n’amuddamu nti, “Laba, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era assibwamu nnyo ekitiibwa, na buli ky’ayogera kituukirira. Tugendeyo, oboolyawo anaayinza okututegeeza ekkubo lye tuba tukwata.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu we n'amugamba nti, “Laba nno, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era omusajja oyo bamussaamu ekitiibwa; byonna by'ayogera bituukirira. Tugende eyo kaakano; mpozzi ye anaayinza okutubuulira eby'olugendo lwaffe lwe tutambula.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza n'amuddamu nti: “Lindako! Mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda assibwamu ekitiibwa, nga buli ky'ayogera kituukirira. Leka tugende gy'ali, oboolyawo ayinza okutubuulira, eby'olugendo lwaffe lwe tutambula.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'amugamba nti Laba nno, mu kibuga muno mulimu omusajja wa Katonda, era omusajja oyo bamussaamu ekitiibwa; byonna by'ayogera tebirema kutuukirira: tugende eyo kaakano; mpozzi ye anaayinza okutubuulira eby'olugendo lwaffe lwe tutambula.