1 Samuel 9:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sawulo n'agamba omulenzi nti: “Bwe tugendayo; kiki kye tunaawa omusajja? Mu nsawo zaffe temukyali mugaati; tetulinaawo kalabo ka kutwalira muntu wa Katonda. Tulina ki?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Sawulo n’agamba omuweereza we nti, “Naye bwe tugendayo, omusajja tunaamutwalira ki? Emmere eweddemu mu nsawo zaffe, ate tewali na kirabo kya kutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti, “Naye, laba, bwe tunaagenda, kiki kye tunaatwalira omusajja? Emmere etuweddeko era tetulina kirabo kyakutwalira musajja wa Katonda. Tulinawo ki?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Sawulo n'abuuza omuweereza we nti: “Bwe tunaagenda gy'ali, tunaamutwalira kirabo ki? Ensawo zaffe ziweddemu emmere, ate tetulina kintu kirala kyonna kya kumuwa. Tulinawo ki?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Awo Sawulo n'agamba omuddu we nti Naye, laba, bwe tunaagenda kiki kye tunaatwalira omusajja? kubanga emmere ewedde mu bintu byaffe, so tewali kirabo kye tuba tutwalira omusajja wa Katonda tulina ki?