1 Samuel 9:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omulenzi n'addamu Sawulo nti: “Wano nninawo ekyokuna kya sekeli eya ffeeza; nzija kugiwa omuntu wa Katonda, atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omuweereza n’addamu Sawulo nti, “Laba, wano nninawo gulaamu ssatu eza ffeeza, era ze nzija okuwa omusajja wa Katonda atutegeeze ekkubo lye tuba tukwata.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuddu n'amuddamu Sawulo nti, “Nninawo ekitundu ekyokuna ekya sekeri eya ffeeza, ekyo kye nnaawa omusajja wa Katonda atulagirire ekkubo lyaffe.”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omuweereza era n'addamu nti: “Nnina akasente aka ffeeza, nnyinza okukamuwa, atubuulire gye tuyinza okusanga endogoyi.”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omuddu n'amuddamu Sawulo nate n'ayogera nti Laba, nnina ekitundu eky'okuna ekya sekeri eya ffeeza mu ngalo zange: ekyo kye nnaawa omusajja wa Katonda atulagirire ekkubo lyaffe.