1 Thessalonians 1:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga Evangili yaffe teyabatuukako mu bigambo byokka, naye ne mu maanyi ne mu Mwoyo Mutuukirivu, wamu mu mutima omumativu ddala. Nammwe mumanyi bwe tweyisa nga tuli ewammwe olw'okubeera mmwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo kyokka, wabula ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu bukakafu obungi, era nga bwe mumanyi nga twabeeranga wakati mu mmwe ku lwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga bwe twabategeeza Amawulire Amalungi, tegaali bigambo bugambo, wabula gaalimu amaanyi ne Mwoyo Mutuukirivu, era nga tukakasiza ddala nti bye tugamba bya mazima. Mumanyi bulungi nga bwe twayisanga nga tuli mu mmwe. Ekyo kyali bwe kityo, lwa kwagala kugasa bwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga enjiri yaffe teyajja gye muli mu kigambo bugambo, wabula era ne mu maanyi, ne mu Mwoyo Omutukuvu, ne mu kutegeerera ddala okungi; nga bwe mumanyi bwe twali gye muli ku lwammwe.