1 Thessalonians 1:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nammwe mwatufaanana ne mufaanana n'Omukama kubanga ekigambo mwakyaniriza mu nnaku ennyingi awamu n'essanyu eriva mu Mwoyo Mutuukirivu;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe mwagoberera Mukama waffe era ne mukola nga bwe twakolanga bwe mwakkiriza ekigambo wakati mu kubonaabona okungi nga mulina essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, kubanga mwafuna ekigambo mu kubonaabona okungi, n'essanyu eriva mu Mwoyo Omutukuvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nammwe mwagoberera empisa zaffe n'eza Mukama waffe, kubanga newaakubadde mwabonaabona olw'ekigambo kya Katonda, naye mwakikkiriza n'essanyu eriva mu Mwoyo Mutuukirivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nammwe ne mutugoberera ffe ne Mukama waffe, bwe mwatoolera ekigambo mu kubonaabona okungi, n'essanyu ery'Omwoyo Omutukuvu;