1 Thessalonians 1:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eyo banyumya nga bwe mwatwaniriza, ne bwe mwakyuka ne mudda eri Katonda, ne muva ku balubaale, mulyoke muweereze Katonda omulamu ow'amazima,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bo bennyini batubuulira engeri gye mwatwanirizaamu, ne bwe mwakyuka okuleka bakatonda abalala ne mudda eri Katonda omulamu era ow’amazima,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bo bokka bategeeza ebitukwatako, bwe mwatwaniriza bwe twajja; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow'amazima,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga abantu bennyini banyumya nga bwe twajja ewammwe, era nga bwe mwava ku bitali Katonda, ne mudda eri Katonda Nnannyinibulamu era ow'amazima, mumuweereze,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bo bokka babuulira ebyaffe okuyingira kwaffe gye muli bwe kwali; era ne bwe mwakyukira Katonda okuleka ebifaananyi, okuweerezanga Katonda omulamu ow'amazima,