1 Thessalonians 2:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mujja kutujulira, ne Katonda yennyini atujulira, nti tweyisa mu ngeri entuukirivu, entuufu era eteriiko musango eri mmwe abakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mmwe muli bajulirwa baffe, era ne Katonda akimanyi, nga twali bakkiriza ddala era abatuukirivu abataaliko kya kunenyezebwa, abeeweerayo ddala bwe twali mu mmwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mmwe bajulirwa era ne Katonda, bwe twabanga n'obutukuvu n'obutuukirivu awatali kya kunenyezebwa mu mpisa zaffe eri mmwe abakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abakkiriza muyinza okutujulira, era ne Katonda atujulira nti empisa zaffe nga tuli mu mmwe zaali ntukuvu, ezituukiridde, era ezitaliiko kya kunenyezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mmwe bajulirwa era ne Katonda, bwe twabanga n'obutukuvu n'obutuukirivu awatali kunenyezebwa eri mmwe abakkiriza: