1 Thessalonians 2:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumanyi nti twabakubiriza kinnoomu mu mmwe nga kitaawe w'abaana bw'abakola, ne tubagumya nga tubeekubako
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
nga bwe mumanyi nga twali kitaawe wa buli omu ku mmwe nga kitaawe w’abaana bw’abeera eri abaana be,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mumanyi nga taata bwaba n'abaana be, naffe bwe twali nammwe, nga tubabuulirira era nga tubagumya emyoyo era nga tubakubiriza,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanyi nti buli omu ku mmwe twabanga naye nga kitaawe w'abaana bw'aba n'abaana be.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga bwe mumanyi ffe bwe twali eri buli muntu ku mmwe, nga kitaabwe bw'aba eri abaana be, nga tubabuulirira era nga tubagumya emyoyo era nga tutegeeza,