1 Thessalonians 2:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Era twebaza Katonda obutasalako, kubanga bwe mwafuna ekigambo kya Katonda nga tukibabuulidde, temwakikkiriza ng'eky'abantu, naye era nga bwe kiri mu mazima: ng'ekigambo kya Katonda, kati ekikola mu mmwe abakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwawulira ekigambo ekiva gye tuli, temwakiwulira ng’ekiva eri abantu wabula ng’ekiva eri Katonda, nga ky’ekigambo kya Katonda kyennyini, ekikolera ne mu mmwe, abakkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwafuna ekigambo kya Katonda, kye mwawulira okuva gyetuli, mwakikkiriza si ng'ekigambo ekya bantu, naye nga ddala kiri ekigambo kya Katonda, n'okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era kyetuva twebaza Katonda bulijjo, kubanga bwe mwawulira ekigambo kye, kye twabategeeza, mwakikkiriza, si nga eky'abantu, wabula mwakkiriza nti ddala kya Katonda. Era ekigambo kye, kye kikolera mu mmwe abakkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naffe kyetuva twebaza Katonda obutayosa, kubanga bwe mwaweebwa ffe ekigambo eky'okuwulirwa, kye kya Katonda, temwakitoola nga kigambo kya bantu, naye nga bwe kiri amazima, ekigambo kya Katonda, n'okukola ekikolera mu mmwe abakkiriza.