1 Thessalonians 2:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, mwafaananira ddala Ekleziya za Katonda mu Kristu Yezu ez'omu Buyudaaya; anti nammwe bannansi bannammwe baababonyaabonya mu ngeri ye emu nga bali Abayudaaya bwe baabakola,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nammwe, abooluganda abaagalwa, mwabonaabona ng’Ekkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu, nga muyigganyizibwa abantu b’eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baayigganyizibwa abantu b’eggwanga lyabwe Abayudaaya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwafaanana ekkanisa za Katonda Kristo Yesu eziri mu Buyudaaya, kubanga nammwe mwabonyaabonyezebwa bwe mutyo ab'eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, mufaanana n'ab'ebibiina by'abakkiririza Katonda mu Kristo Yesu ab'omu Buyudaaya, kubanga mwabonyaabonyezebwa bannansi bannammwe, nga bali bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mmwe, ab'oluganda, mwagoberera ekkanisa za Katonda eziri mu Buyudaaya mu Kristo Yesu: kubanga nammwe mwabonyaabonyezebwa bwe mutyo ab'eggwanga lyammwe mmwe, nga nabo bwe baabonyaabonyezebwa Abayudaaya;