1 Thessalonians 2:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
abo abatta Omukama Yezu n'abalanzi, naffe abaatugobaganya; Katonda tebamusanyusa, bawakanya n'abantu bonna,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe baamala okutta bannabbi baabwe, ne batta ne Mukama waffe Yesu, era naffe baatuyigganya nnyo; tebaasanyusa Katonda era balabe b’abantu bonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
abatta Mukama waffe Yesu ne bannabbi, era naffe abaatugoba, ne banyiiza Katonda, era balabe b'abantu bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abatta Mukama waffe Yesu era n'abalanzi, ate naffe ne batuyigganya. Tebasanyusa Katonda, era balabe b'abantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
abatta Mukama waffe Yesu ne bannabbi, era abaatugoba, so tebasiimibwa Katonda, era balabe ba bantu bonna;