1 Thessalonians 2:16 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
kubanga tebatuganya kuyigiriza ab'amawanga balyoke balokoke; bwe batyo bulijjo ekipimo ky'ebibi byabwe ne bakireegera ddala okutuusa gye kikoma. Naye kyaddaaki kati obusungu bw'Omukama bubajjidde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
era baatugaana okubuulira Abaamawanga olw’okutya nti bajja kulokoka, kale ebibi byabwe byeyongera bulijjo; ku nkomerero, obusungu bwa Katonda bubabuubuukiddeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era baatuziyiza okubuulira ab'amawanga balyoke balokoke; bwe batyo ne bongera ku bibi byabwe eby'edda, naye obusungu bwa Katonda bubatuuseeko ku nkomerero.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baagezaako n'okutuziyiza okutegeeza ab'amawanga amalala eby'okubalokola, ekyo ne kyongera ku bibi byabwe bye bazze bakola okuva edda. Ku nkomerero Katonda n'abasunguwalira nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nga batuziyiza okubuulira ab'amawanga balyoke balokoke; okutuukiriza ebibi byabwe ennaku zonna: naye obusungu bubatuuseeko obumalira ddala.