1 Thessalonians 2:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, akabanga ako akatono ke twayawukana, - mu mubiri naye si mu mutima – twayagala ekisukkiridde n'okwegomba kungi okubalabirako ddala maaso ku maaso.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda bwe twabaawukanako nga wayiseewo akaseera akatono, wadde essaawa emu, so ng’emitima gyaffe gisigadde eyo, twegomba nnyo okukomawo twongere okubalabako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ffe, ab'oluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono, mu maaso si mu mutima, tweyongera nnyo okufuba okubalaba mu maaso gammwe n'okubalumirwa ennyo omwoyo,
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono (ku maaso, sso si ku mutima), tweyongera nnyo okwegomba okubalabako,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ffe, ab'oluganda, bwe mwatwawukanako akaseera akatono, mu maaso si mu mutima, tweyongera nnyo okufuba okubalaba mu maaso gammwe n'okubalumirwa ennyo omwoyo: