1 Thessalonians 2:19 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okuggyako mmwe, tulinayo ssuubi ki eddala oba essanyu, oba engule gye tulyetenderamu mu maaso ga Mukama Yezu Kristu lw'alijja?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kale Mukama waffe Yesu bw’alijja, si mmwe mulibeera essuubi n’essanyu lyaffe, n’engule ey’okwenyumiriza kwaffe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga essuubi lyaffe, oba essanyu lyaffe, oba ngule ki ey'okwenyumiriza kwaffe mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe? Si ye mmwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale Mukama waffe bw'alijja, si mmwe mulibeera essuubi lyaffe n'essanyu lyaffe mu maaso ge? Si mmwe tulisinziirako okwenyumiriza olw'obuwanguzi?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga essuubi lyaffe ki oba ssanyu oba ngule ey'okwenyumiriza? Bwe mutaba mmwe, mu maaso ga Mukama waffe Yesu mu kujja kwe?