1 Thessalonians 2:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Okubakubiriza kwe tukola gye muli tekuva mu bulimba, oba mu kugenderera bya buseegu oba eby'okubalabankanya,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okubuulirira kwaffe tekwali kwa bulimba so tekwali kwa bugwenyufu, wadde okw’obukuusa,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okubuulirira kwaffe si kwa bulimba, so si kwa bugwagwa, so tekukolebwa mu bukuusa;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bye tubakubiriza si bya bulimba oba eby'obugwagwa, wadde eby'obukuusa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga okubuulirira kwaffe si kwa bulimba, so si kwa bugwagwa, so si mu bukuusa: