1 Thessalonians 2:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mumanyi bulungi nti tetubangako lwe twogera lwa kunyumiikiriza yadde okugendereramu eby'okufuna; Katonda ye mujulirwa waffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tetugezangako kubawangula na bigambo biwaaniriza nga nammwe bwe mumanyi, wadde okuba ab’omululu era Katonda akimanyi,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga tetukozesanga wadde bigambo bya kubawaanawaana, nga bwe mumanyi, oba okukisa okwegomba kwaffe, Katonda ye mujulirwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mumanyi bulungi nti tetukozesanga bigambo bya kubawaanawaana, wadde eby'okukweka omululu gwaffe. Katonda ye mujulirwa waffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga tetubeeranga na kigambo eky'okwegonza, nga bwe mumanyi, newakubadde n'ensonga ey'okukisa okwegomba, Katonda ye mujulirwa;