1 Thessalonians 2:8 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'okubaagala tutyo, twasiima si kubawa Vangili ya Katonda yokka, naye naffe ffennyini okubeewa, kubanga mwali mufuuse baganzi gye tuli.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo ne tusanyuka okubatuusaako si Enjiri ya Katonda yokka naye n’okuwaayo emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwafuuka baagalwa baffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'okubalumirwa omwoyo bwe tutyo, twetegeka okugabana nammwe si njiri ya Katonda yokka, naye era n'emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Twabalumirwa nnyo omwoyo, kyetwava twegomba okubatuusaako Amawulire Amalungi agava eri Katonda. Si ekyo kyokka, naye twegomba n'okuwaayo obulamu bwaffe bwennyini, kubanga twabaagala nnyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
bwe tutyo bwe twabalumirwa omwoyo, ne tusiima okubagabira, si njiri ya Katonda yokka, era naye n'emyoyo gyaffe ffe, kubanga mwali baagalwa baffe nnyo.