1 Thessalonians 2:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, mujjukire okukola kwaffe n'okutegana; bwe twalinga tuyigiriza Evangili ya Katonda, twakolanga emisana n'ekiro tubulweko gwe tukaluubiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abooluganda mujjukire okufuba kwaffe n’okutegana kwaffe; bwe twakolanga emisana n’ekiro tuleme okubazitoowerera, nga tubabuulira Enjiri ya Katonda.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mujjukira, ab'oluganda, okufuba kwaffe n'okutegana, bwe twakolanga emirimu emisana n'ekiro, obutazitoowereranga muntu yenna ku mmwe, ne tubabuuliranga enjiri ya Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda mujjukire nga bwe twabategeezanga Amawulire Amalungi agava eri Katonda, era nga bwe twafuba ne tutegana, nga tukola emisana n'ekiro, tuleme okuzitoowerera wadde omu ku mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mujjukira, ab'oluganda, okufuba kwaffe n'okutegana: bwe twakolanga emirimu emisana n'ekiro, obutazitoowereranga muntu yenna ku mmwe, ne tubabuuliranga enjiri ya Katonda.