1 Thessalonians 3:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Twegayirira nga twesengereza emisana n'ekiro, tusobole okuddamu okubalabako ate, tumalirize ebikyabula ku kukkiriza kwammwe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda tumwegayirira nnyo nnyini emisana n’ekiro, atukkirize okubalabako tujjuulirize ebyo ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
emisana n'ekiro nga tusaba nnyo nnyini okulaba ku maaso gammwe, n'okutuukiriza ebikyabulako mu kukkiriza kwammwe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Emisana n'ekiro twegayirira nnyo Katonda, tusobole okulabaganako nammwe amaaso n'amaaso, era tulyoke tutuukirize ebikyabula ku kukkiriza kwammwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
emisana n'ekiro nga tusaba nnyo nnyini okulaba ku maaso gammwe, n'okutuukiriza ebitatuuka mu kukkiriza kwammwe?