1 Thessalonians 3:12 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Omukama abawe mweyongere era musukkulume mu kwagalana mwekka na mwekka ne mu kwagala abantu bonna, kyenkana nga naffe bwe tubaagala,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mukama waffe aboongereko okwagala kwammwe, mwagalanenga mwekka na mwekka era mwagalenga nnyo abantu bonna, nga naffe bwe tubaagala,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nammwe Mukama waffe abongerengako era abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka, n'okwagalanga abantu bonna, era nga naffe bwe tubaagala mmwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama abongeremu okwagalananga n'okwagalanga abantu bonna, nga ffe bwe tubaagala mmwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
nammwe Mukama waffe abongerengako abasukkirizenga okwagalananga mwekka na mwekka n'eri bonna, era nga naffe eri mmwe;