1 Thessalonians 3:13 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
agumye bw'atyo emitima gyammwe mu butuukirivu, nga temuliiko musango mu maaso ga Katonda era Taata ku luli Mukama waffe lw'alijja wamu n'abatuukirivu be bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
alyoke anyweze emitima gyammwe nga temuliiko kya kunenyezebwa mu butukuvu mu maaso ga Katonda Kitaffe, Mukama waffe Yesu Kristo bw’alikomawo n’abatukuvu be bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kya kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Anyweze emitima gyammwe, Mukama waffe Yesu bw'alijja awamu n'abatukuvu be, mulyoke musangibwe nga temuliiko kya kunenyezebwa, nga muli batukuvu mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
alyoke anywezenga emitima gyammwe nga tegiriiko kunenyezebwa mu butukuvu, mu maaso ga Katonda waffe era Kitaffe, mu kujja kwa Mukama waffe Yesu wamu n'abatukuvu be bonna.