1 Thessalonians 3:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ne tubatumira muganda waffe Timotewo, omuweereza wa Katonda ali ku mulimu gw'okuyigiriza Evangili ya Kristu, ajje abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ne tutuma Timoseewo, muganda waffe era muweereza munnaffe mu mulimu gwa Katonda, mu Njiri ya Kristo, abagumye era abanyweze mu kukkiriza kwammwe,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era ne tutuma Timoseewo muganda waffe era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanyweza n'okubagumya mu kukkiriza kwammwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne tutuma muganda waffe Timoteewo, gwe tukola naye omulimu gwa Katonda nga tutegeeza abantu Amawulire Amalungi aga Kristo. Twamutuma abagumye, era abanyweze mu kukkiriza kwammwe,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ne tutuma Timoseewo muganda waffe era omuweereza wa Katonda mu njiri ya Kristo, okubanyweza n'okubasanyusa olw'okukkiriza kwammwe;