1 Thessalonians 3:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Sso era bwe twali ewammwe, twabagambirawo nti ennaku twali ba kuziraba, ng'era bwe bibaddewo, nga nammwe bwe mumanyi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ne bwe twali tukyali nammwe twabategeeza nti tuli baakuyigganyizibwa era bwe kyali bwe kityo era mukimanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga mazima, bwe twali gye muli, twababuulira olubereberye nga tugenda okubonaabona; era bwe kyali bwe kityo era nga bwe mumanyi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bwe twali tukyali nammwe twabategeerezaawo nti tuli ba kubonyaabonyezebwa, era mumanyi nti ekyo kituukiridde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga mazima, bwe twali gye muli, twababuulira olubereberye nga tugenda okubonaabona; era bwe kyali bwe kityo era nga bwe mumanyi.