1 Thessalonians 3:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nange nno nalaba sikyayinza kugumiikiriza, kwe kutuma gye muli, ntegeere okukkiriza kwammwe nga bwe kuli. Nali ntya nti sikulwa ng'omukemi yabakema omulimu gwaffe ne gufa busa.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ssaayinza kwongera kugumiikiriza kyennava ntuma Timoseewo ajje alabe obanga okukkiriza kwammwe kukyali kunywevu, si kulwa nga mukemebwa omukemi, ne tuba nga twateganira bwereere.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olw'ensonga eno, bwe ssaayinza kugumiikiriza nate, kyennava ntuma, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe bwe kuli, nga ntya nti mpozzi omukemi oyo yabakema okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nange bwe nalaba nga sikyayinza kugumiikiriza, kwe kubatumira Timoteewo. Namutuma, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe bwe kuli nga ntya nti sikulwa ng'omukemi abakema, okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nange kyennava ntuma, bwe ssaayinza kugumiikiriza nate, ndyoke mmanye okukkiriza kwammwe; oba nga mpozzi omukemi oyo yabakema okufuba kwaffe ne kuba okw'obwereere.