1 Thessalonians 3:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kati Timotewo bw'akomyewo eno okuva ewammwe, atubuulidde amawulire amalungi ku kukkiriza kwammwe ne ku kwagala; era n'atugamba nti mukyatujjukira bulungi, nti bulijjo mwegomba okutulabako nga naffe bwe twegomba okubalaba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye kaakano Timoseewo bw’akomyewo ng’ava gye muli atuleetedde amawulire amalungi ag’okukkiriza kwammwe n’okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi bulijjo, nga mwesunga okutulabako nga naffe bwe twesunga okubalabako.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Timoseewo kaakano bwe yajja gyetuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebirungi eby'okukkiriza n'okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi ennaku zonna, nga mutulumirwa okutulaba, era nga ffe bwe tubalumirwa mmwe;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kaakano Timoteewo ky'ajje akomewo gye tuli ng'ava ewammwe. Atuleetedde amawulire amalungi, agafa ku kukkiriza kwammwe n'okwagala kwammwe. Era atutegeezezza nti bulijjo mutulowoozaako nnyo, era nti mwegomba okutulabako nga naffe bwe twegomba okubalabako.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Timoseewo kaakano bwe yajja gye tuli ng'ava gye muli, n'atuleetera ebigambo ebirungi eby'okukkiriza n'okwagala kwammwe, era nga mutujjukira bulungi ennaku zonna, nga mutulumirwa okutulaba, era nga ffe bwe tubalumirwa mmwe;