1 Thessalonians 3:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe wamma, abooluganda, olw'okukkiriza kwammwe, mutukubagizza mu bikalubo byonna ne mu bizibu bye tulimu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abaagalwa, newaakubadde nga tuli mu buzibu ne mu kubonaabona, okukkiriza kwammwe kutuzaamu amaanyi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olw'ekyo ab'oluganda, mu kulaba ennaku n'okubonaabona kwaffe kwonna, tuzibwamu nnyo amaanyi olw'okukkiriza kwammwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale baganda baffe, newaakubadde nga tuli mu buzibu bungi, ne mu kubonaabona, naye okukkiriza kwammwe kutuzzizzaamu amaanyi,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kyetwava tusanyusibwa, ab'oluganda, ku lwammwe mu kulaba ennaku n'okubonaabona kwaffe kwonna olw'okukkiriza kwammwe: