1 Thessalonians 4:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekisembayo, abooluganda, tubeegayiridde era tubakubiriza mu Mukama Yezu nti nga bwe mwatuyigirako bwe musaanye okuyisa okusanyusa Katonda, era kati nga bwe mukola, mweyongerere ddala okukola bwe mutyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Noolwekyo abooluganda, ekisembayo, tubeegayirira nga tubazzaamu amaanyi mu Mukama waffe Yesu, nti nga bwe twababuulirira bwe kibagwanira okutambula n’okusanyusa Katonda, era nga bwe mukola bwe mutyo, mugende mu maaso okukolanga bwe mutyo n’okusingawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eky'enkomerero, ab'oluganda, tubeegayirira era tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwatuyigirako bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula, mweyongerenga bwe mutyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, mwatuyigirako nga bwe musaana okubeera, mulyoke musanyuse Katonda, era bwe mutyo bwe mubadde mukola. Kale kaakano eky'enkomerero, tubeegayirira era tubabuulirira mu linnya lya Mukama waffe Yesu, mukole bwe mutyo n'okusingawo,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, ab'oluganda, ebisigaddeyo, tubeegayirira tubabuulirira mu Mukama waffe Yesu, nga bwe mwaweebwa ffe bwe kibagwanira okutambulanga n'okusiimibwanga Katonda, era nga bwe mutambula; okweyongerangako nate.