1 Thessalonians 4:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
ndaba mwagala abooluganda bonna wonna mu Masedoniya. Kye tubasaba nno, abooluganda, mwongere bwongezi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ddala bwe mutyo bwe mwagala abooluganda bonna ab’omu Makedoniya, naye era abooluganda, tubakuutira mweyongere okubaagalanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ddala mwagala ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Era bwe mutyo bwe mukola mu booluganda bonna abali mu Makedooniya yonna. Kale baganda baffe, tubeegayirira mukolenga bwe mutyo n'okusingawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
kubanga n'okukola mukola bwe mutyo ab'oluganda bonna ab'omu Makedoni yonna. Naye tubabuulirira ab'oluganda, okweyongeranga okusukkirira;