1 Thessalonians 4:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Muluubirire okuba mu ddembe, okufa ku bibakwatako, n'okukola n'emikono gyammwe nga bwe twabagamba;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mubeerenga bakkakkamu, nga temweyingiza mu by’abalala, era mukolenga emirimu gyammwe nga bwe twabakuutira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Munyiikirirenga okuba mu ddembe, mukolenga emirimu gyammwe, nga mukola n'emikono gyammwe nga bwe twabagamba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
era mwegombe okukkakkananga, n'okukolanga ebyammwe mmwe, n'okukolanga emirimu n'emikono gyammwe, nga bwe twabalagira;