1 Thessalonians 4:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abooluganda, tetwagala muwubwe ku abo abeebase, muleke kunakuwala ng'abantu abalala abatalina ssuubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano, abooluganda tetwagala mmwe obutategeera eby’abo abafu, ne munakuwala ng’abalala abatalina ssuubi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abooluganda, twagala mumanye ebikwata ku abo abaafa, muleme kunakuwala ng'abantu abalala abatalina ssuubi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye tetwagala mmwe obutategeera, ab'oluganda, eby'abo abeebaka; mulemenga okunakuwala, era ng'abalala abatalina ssuubi.