1 Thessalonians 4:14 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Oba tukkiriza nga Yezu yafa n'azuukira, awo nno ne Katonda ng'ayita mu Yezu, abeebase alibakomyawo wamu naye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga bwe tukkiriza nti Yesu yafa era n’azuukira mu bafu bwe tutyo tukkiriza nti Katonda alikomyawo wamu naye abo abaafira mu Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alikomyawo bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tukkiriza nti Yesu yafa n'azuukira, era bwe kiriba ne ku abo abaafa nga bakkiriza Yesu: Katonda alibakomyawo wamu ne Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga bwe tukkiriza nga Yesu yafa n'azuukira, era Katonda alireeta bw'atyo abeebaka ku bwa Yesu wamu naye.