1 Thessalonians 4:15 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kino tukibagamba ng'Omukama bwe yakyogera nti: ffe abakyali abalamu, abakyasigaddewo okutuusa Omukama lw'alijja, si ffe tulisookayo bali abeebase.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga ekyo kye tubategeeza mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu, abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abaafa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tubategeeza ekyo Mukama waffe kye yagamba nti Ye Mukama waffe bw'alijja, ffe abalamu tetulisooka abo abaafa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekyo kye tubabuulira mu kigambo kya Mukama waffe, nga ffe abalamu abaasigalawo okutuusa okujja kwa Mukama waffe tetulisooka abeebaka.