1 Thessalonians 4:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Anti Omukama yennyini aliva mu ggulu n'akka ekiragiro bwe kiriyita, Ssabamalayika bw'alireekaana n'ekkondeere lya Katonda nga linyaanyaagira. Olwo abafu abali mu Kristu be balisooka okuzuukira;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n’eddoboozi ery’omwanguka, eddoboozi lya malayika omukulu nga liwulirwa, n’ekkondeere lya Katonda, n’abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda, n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama waffe yennyini alikka ng'ava mu ggulu, ekirangiriro nga kirangirirwa, eddoboozi lya Ssaabamalayika nga liwulirwa, era n'ekkondeere lya Katonda nga livuga. Abo abaafa nga bakkiriza Kristo, be balisooka okuzuukira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga Mukama waffe yennyini alikka okuva mu ggulu n'okwogerera waggulu n'eddoboozi lya malayika omukulu n'ekkondeere lya Katonda: n'abo abaafiira mu Kristo be balisooka okuzuukira: