1 Thessalonians 4:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
awo naffe abaliba bakyali abalamu, tulikuŋŋunsibwa mu bire wamu nabo okugenda okusisinkana Kristu mu bbanga. Olwo tulibeera n'Omukama ennaku zonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tubeegattako, ne tusitulibwa mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naffe abaliba bakyali abalamu ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga; kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Awo naffe abaliba bakyali abalamu, ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire, okusisinkana Mukama waffe mu bbanga. Olwo ne tubeeranga ne Mukama waffe bulijjo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
naffe abalamu abaasigalawo ne tulyoka tutwalibwa wamu nabo mu bire okusisinkana Mukama waffe mu bbanga: kale bwe tutyo tunaabeeranga ne Mukama waffe ennaku zonna.