1 Thessalonians 4:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
wabulewo asobeza munne oba amulyakula mu by'obusuubuzi; kubanga Omukama awoolera eggwanga mu ebyo byonna, ng'era bwe twabagamba luli ng'atukakasiza ddala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mu nsonga eyo walemenga okubaawo ayingirira muganda we, newaakubadde amusobyako, kubanga Mukama yawoolera eggwanga mu nsonga zino. Ebintu bino byonna twabibagamba dda era ne tubawa n’obujulirwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omuntu yenna alemenga okwonoona muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo, kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okubategeereza ddala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu nsonga eno waleme kubaawo akola ebirumya munne, wadde okumutwalako ekikye, kubanga Mukama awoolera eggwanga oly'ebyo byonna. Ebyo byonna twabibalabulamu era twabibategeeza dda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
alemenga okuyingirira muganda we newakubadde okumusobyako mu kigambo ekyo: kubanga Mukama waffe awalana eggwanga ery'ebyo byonna, era nga bwe twasooka okubabuulira n'okutegeereza ddala.