1 Thessalonians 4:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Simwetaaga muntu kubawandiikira ku mpisa ya kwagalana kwe muteekwa okwagalanamu ng'ab'oluganda, anti Katonda yennyini yabayigiriza dda bwe musaanye okwagalana;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kaakano ku bikwata ku kwagalana kw’abooluganda sseetaaga kubibawandiikirako, kubanga mmwe mwennyini mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ebikwata ku by'okwagalanga ab'oluganda, temwetaaga muntu yenna kubawandiikira, kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye ebikwata ku kwagalana, abooluganda, seetaaga kubibawandiikira, kubanga mmwe mwennyini Katonda yabayigiriza okwagalana.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye okuwandiikirwa ku by'okwagalanga ab'oluganda okwo temukwetaaga: kubanga mmwe mwekka mwayigirizibwa Katonda okwagalananga;