1 Thessalonians 5:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mulabe nti mu mmwe temuli awoolera ggwanga, wabula muluubirire bulijjo okukolera obulungi buli omu ne bonna.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Mulabenga nga mu mmwe temuli muntu asasula ekibi olw’ekibi, naye bulijjo mukolenga obulungi buli muntu ne munne, era n’eri abantu bonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mulabe nti mu mmwe tewaba awoolera ggwanga, wabula bulijjo munyiikirirenga okukola ebirungi mu mmwe, ne mu bantu bonna.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mulabe omuntu yenna alemenga okuwalana ekibi olw'ekibi; naye ennaku zonna mugobererenga ekirungi mwekka na mwekka n'eri bonna.