1 Thessalonians 5:23 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda yennyini ow'emirembe abafuule batuukirivu mwenna. Mwenna nga bwe muli: omutima, emmeeme, n'omubiri, bibeere biramu ebitaliiko musango Mukama waffe Yezu Kristu lw'alijja.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda ow’emirembe abatukulize ddala, era omwoyo gwammwe gwonna, n’emmeeme yammwe n’omubiri gwammwe, bikuumibwenga nga tebiriiko kya kunenyezebwa okutuusa ku lunaku olw’okujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yennyini atuwa emirembe, abatukuze. Era emyoyo gyammwe n'obulamu bwammwe n'emibiri gyammwe, bikuumibwe nga biri bulungi, Mukama waffe Yesu bw'alijja, mube nga temuliiko kye munenyezebwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era Katonda ow'emirembe yennyini abatukulize ddala; era omwoyo gwammwe n'obulamu n'omubiri byonna awamu bikuumibwenga awatali kunenyezebwa mu kujja kwa Mukama waffe Yesu Kristo.