1 Thessalonians 5:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baliba bakyawoza: “Kiri mulaala, kiri bulungi,” olwo okuzikirizibwa ne kubagwira ng'okulumwa bwe kugwira omukazi ow'olubuto, ate teriba kuwona.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abantu balirowooza mu mitima gyabwe nti, “Tulina emirembe era tulina obukuumi,” amangwango okuzikirira ne kulyoka kubajjira, ng’okulumwa bwe kujjira omukazi agenda okuzaala omwana; ne batawona n’akatono.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bwe baliba nga boogera nti, “Mirembe, tewali kabi,” okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bwe baliba nga bagamba nti: “Mirembe, tewali kabi”, olwo okuzikirizibwa ne kulyoka kubatuukako, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi alumwa okuzaala. Tebaliwona n'akatono.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bwe baliba nga boogera nti Mirembe, siwali kabi, okuzikiriza okw'amangu ne kulyoka kubajjira, ng'okulumwa bwe kujjira omukazi ali olubuto; so tebaliwona n'akatono.