1 Thessalonians 5:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye ffe tuli ba misana, awo nno tuleme kuba batamiivu, twambale ekizibawo eky'okukkiriza n'okwagala, ate enkufiira nga lye ssuubi ery'okulokoka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira. Twambale okukkiriza n’okwagala ng’ekyomu kifuba, era tube n’essuubi ery’obulokozi nga ye nkufiira yaffe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, era twambale eky'omu kifuba okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kale nga bwe tuli ab'emisana, tuleme kuba batamiivu. Okukkiriza n'okwagalana bitubeerere engabo, n'okusuubira obulokozi kutubeerere enkuufiira,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye ffe, kubanga tuli ba musana, tulemenga okutamiira, nga twambadde eky'omu kifuba eky'okukkiriza n'okwagala, n'enkuufiira, essuubi ly'obulokozi.