1 Timothy 1:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
newandibadde ng'edda namujolonga, ne mmuyigganya ne mmuvuma; wabula nasaasirwa, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya na mu butakkiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Newaakubadde ng’edda namwogerangako bubi, ne mmuyigganya era ne mmuvuma, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya nga sinnaba kumukkiriza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
olubereberye bwe nnali omuvumi era omuyigganya era ow'ekyejo; naye nnasaasirwa kubanga nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Newaakubadde ng'edda namwogerako bubi, ne mmuyigganya, era ne mmuvoola, kyokka yansaasira, kubanga ebyo nabikolanga mu butamanya, nga sinnaba kumukkiriza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
olubereberye bwe nnali omuvumi era omuyigganya era ow'ekyejo: naye nnasaasirwa kubanga nnakolanga nga ssimanyi mu butakkiriza;