1 Timothy 1:14 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye eneema ya Mukama waffe yanzijuzaamu okukkiriza n'okwagala ebiri mu Kristu Yezu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi n’ampa okukkiriza kungi, era n’okwagala kwe tufunira mu Kristo Yesu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekisa kya Mukama waffe ne kyeyongera nnyo gyendi wamu n'okukkiriza n'okwagala okuli mu Kristo Yesu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mukama waffe yankwatirwa ekisa kingi nnyo, n'ampa okukkiriza, era n'okwagala, bye tufunira mu Kristo Yesu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
ekisa kya Mukama waffe ne kyeyongera nnyo wamu n'okukkiriza n'okwagala okuli mu Kristo Yesu.