1 Timothy 1:15 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ekyogerwa ekyo kya mazima era kisaanye okukwatibwa kyonna, nti Kristu Yezu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi; ate mu bo nze mubereberye.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ekigambo kino kituufu, kisaanye okukkiriza, ekigamba nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi. Mu bo nze mwonoonyi asookera ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w'olubereberye.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekigambo kino kituufu ddala, kisaanye okukkiriza ekigamba nti: “Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola aboonoonyi.” Mu bo nze nsingira ddala okuba omwonoonyi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekigambo kyesigwa, era ekisaanira okukkirizibwa kwonna nti Kristo Yesu yajja mu nsi okulokola abalina ebibi; mu bo nze w'olubereberye;